Ebikwata ku nkola za Microfinance ez’omubitundu
Kino ekiwayi kya Microfinance ez’omubitundu kyamala dda okukasibwa mu nsi yonna nga enkola ey’amaanyi esobola okulwanyisa obwavu n’okusitula ebyenfuna by’abantu wonna. N’olwekyo okukyuusa embeera zabamufuna mpola n’abaavu, mubyensimbi n’obulamu obwabulijjo kisobose, era nga abakikoze bayise mu nkola eya Microfinance ez’omubitundu.
Omulamwa omukulu ogwa micro finance zino kwekuwa abantu b’ekitundu ensimbi ezitandika oba nezigaziya emirimu eminene n’emitono, era ziyambyennyo eby’enkulakulana by’amawanga mangi munsi yonna eranga kino ky’ekimu ku bintu ebingi era ebikulu microfinance ez’ebitundu kyezikola .
Ebitongole bya micro finance byettanira nnyo omuntu omwavu, oyo abalala gwe balowooza nti kyabulabe okumuwola ensimbi, naye nga oyo singa enkola y’okuzza ensimbi baba bagigonzezaamu gyaali obutafaanana zi banka zabusuubuzi, amaliriza asasudde bulungi nga abalala. (Zeller and Sharma, 1998).
N’okusinziira ku mbeera eyo waggulu, ACSA yalaba nga kikulu nnyo omulimi atandikirwako atusibwaako enkola ennyangu ey’okufunamu ensimbi era nga kino kikulu nnyo munteekateeka ey’okutumbula embeera z’omuntu womukyalo, era awatali kutuusa ku bantu busobozi bwakutereka nakwewola nsimbi abalimi abatandikirwako bajja kusigala bafuna ebyeekango okugeza ekyeeya , endwadde, okugwa kwebbeeyi y’ebitundibwa n’okutwalibwako ebyabwe nga bitwalibwa abaggaga.
Mungeri endala, abalimi abatono abasobola okutuukirira obuterekero bwe by’ensimbi obulina enkola ennungi (local micro finance) basobola bulungi okwefunira ensimbi zentandikwa okugula ebikozesebwa , okusasula abakozi, n’okugula ebyuma ebikozesebwa okukola emirimu egiyingiza ensimbi , era basobola n’okusiga ensimbi mu mirimu buli omu gyatya naye nga ate egyo gyegisinga okukola amagoba. N’ekirala basobola bulungi okuyingira akatale era n’okukozesa enkola ezo okufuna emmere emala ey’okulya mu maka.
Mubufunze, okuba n’amakubo agenjawulo awava ensimbi kiwa emikisa mingi abalimi okwongera ku biva mubulimi, okulongoosa ku mbeera y’okuba n’emmere emala mu maka, n’okwongera amaanyi muby’enfuna mu bantu ne mugwanga lyonna.
Okulungamya kuno , kwakunganyizibwa okusinziira kukunoonyereza okwakolebwa ku nkola eza microfince ez’ebitundu mu mwezi gwa June mu mwaka 2019. Era kyaazulibwa nti okutwaliza awamu Uganda yensi ekyasinze okweyambisa enkola eno mu Africa.
MFIs ezimu olwaleero zirina obumanyirivu nenkulakulana byamaanyi, nga era zituuka ku bantu abewerera ddala.
Okusinziira nti Gavumenti yagunjawo etteeka eryokutumbula zi SACCOs nga ekkubo ery’okuyitamu okwongeza ku buweereza obweby’ensimbi mu byalo, omuwendo gwa zi SACCOs gweyongedde, era nga ekitongole ekitwaala eby’obweggasi kyalaga omuwendo gwaazo okuba 2,176 SACCOS ezali zimaze okwewandiisa mu mwaaka 2015.
Naye, newankubadde nga SACCOs zirina obusobozi okuyamba abantu naddala bamufuna mpola okufuna obuweereza obwensimbi, okuvuganya kwaazo kufunye okukosebwa okuva kuntambuza embi eyemirimu munda muzzo, ne kulwokungunjaawo kw’obuwereza obulala obw’ensimbi obutali mu mateeka mu bitundu okugeza nga VSLAs ne ROSCAs.
Ebyazuulibwa mu kunoonyereza ebyassibwa mu katabo kano biraga nti abantu bangi nnyo abeyambisa obuweereza bw’ensimbi buli obutali buwandiise , nti era bafunye enkulakulakulana mu mbeera zaabwe ezabulijjo, naddala mu mbeera z’abaana baabwe.
Ekirala ekyazuulibwa kirinti yadde nga abantu bangi bakolo okujjuliriza ebyenfuna byabwe okuva mu mirimu emitonotono, batono nnyo kwaabo abalina amagezi oba obumanyirivu mu kutereka n’okwewola ensimbi okwongera mu mirimu gino.
Okuyambako ku nsonga eno, era n’okusobola okukozesa obusobozi obunene obwa zi VSLAs, nga emmanduso y’okutumbula ebyenfuna mu byalo , ACSA ekoze okulungamya kuno eri abalimi abatono n’abantu bonna mu bitundu ebyenjawulo okuyambako mu kutandikawo , okwetusaako , n’okwenyigira mu nkola eya microfinance ez’ebitundu byabwe .