Ekitongole ekya Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) nga kiri wamu ne University ya Mountains of the Moon esangibwa mu district ye Kabalore mu Fort Portal city mu kawefubbe wabwe owokunogera ebizibu ebisumbuwa abalimi bategese olukungana olumanyidwa nga the 4th Student–Farmer–CSO Research Exchange Platform 2026 nekigendererwa ekyokuzuula , okukola okunonyereza ebizibu by’abalimi era bizibu ki okunonyereza kwebigonjola.
Abayizi n’abalimi baliko byebazudde nebitukidwako mu lukungana. Omu ku bayizi ku university eno Waswa Victor atunyonyodde ebimu ku byogedwako. University ya Mountains of the Moon esangibwa mu Fort Portal city mu district eye Kabalore, okusinga essira yaliteka Kukusomesa by’abulimi.
Alex Mwine nga akola nekitongole ki Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) era nga akola nga owa Monitoring and Evaluation (M&E) mu kitongole kino atunyonyodde Ku kigendererwa ky’olukungana luno. Abamu ku bitongole ebikolagana ne ACSA nabo batunyonyodde kwebyo ebibadde munsisinkano eno.
Abalimi okuva mu bitundu eby’eggwanga ebyenjawulo okuva mu Masaka, Mpigi Mubende, Mityana, Kabale ,Buikwe awamu ne Busoga nawalala nabo banyonyodde ku nsisinkano eyategekedwa ACSA.
Abalimi banyonyodde nti agamu ku magezi gebafunye bakugasasanya mu balimi abalala mu bitundu jjebava.
Ekitongole kya Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) kilubirira okusomesa abalimi mu Uganda yonna ku nnima ettakosa butonde bwansi nokunogera eddagala ku bizibu ebisomooza abalimi naddala nga biva ku nkyukakyuka y’obutonde bwensi

Author Credit: This article was originally published by Radio Buwama (90.2 FM).

